New Lyrics

Joseph Ngoma – Ye Mwesigwa Lyrics

Joseph Ngoma – Ye Mwesigwa Lyrics
Joseph Ngoma – Ye Mwesigwa Lyrics

Joseph Ngoma – Ye Mwesigwa Lyrics Mukwano gwange Rinah
Emikwano olina
Ssente olina nkimanyi
Obulamu bukunyumira
Nange nnyabo
Bwe nkulaba olwo ne nzijukira
Bwe nali omugagga
Nga nina emikwano nkumu
Naye no nnyabo
Beera mugezigezi
Abantu tobeesiga nnyo
Bakyuka ssi beesigwa
Tuba n’emikwano nkumu
Naye ekibi kye balina
Oli okuba mukwano gwo
Ng’era olina kye yeetaaga
Kati no nnyabo
Bwaba amaze okukifuna
Oba bwe kimala ne kiggwaawo
Nga n’omukwano gwe olwo gukomye
Nze naye nafuna essanyu
Kuba nafuna abasinga Yesu
Buli kadde abeera nange
N’omukwano gwe tegukoma

Ye mwesigwa nnyo
Alina omukwano
Buli kadde abeerawo Yesu
N’omukwano gwe tegukoma
Eŋanda zaffe
Ssaako emikwano
Bakyukakyuka
Naye Mukama takyuka
Bw’anjagala leero
N’enkya era bwatyo
Labayo talikuleka
Yadde olina ekirwadde nga kikulya
Oba bwavu buzze
Nandiki miranga
Ye Mukama abeerawo bambi
N’anyiga emitima egimenyese
Bakukyaye bonna
Olina ebiwundu
Ye Mukama abeerawo bambi
N’anyiga emitima egimenyese

Nalina emikwano
Nga twesigaŋana
Ng’era bagamba
We ndigwa webaligwa
Nalina ssente
Nga nabo era balina
Nga bwe ndya ne balya
Wamma gwe obulamu ne bunyuma
Ffe bwe twayoyanga
Okulya ku kibumba
Nga tuttisa nte
Ssente bw’ogikuba egonzaawo
Nali ndowooza
Nti omukwano gwe twalina
Okufa kwe kulitwawula
Naye bino eby’ensi mpewo
Obugagga bwange
Mu kaseera katono nnyo
Bwonna bwabuka
N’emikwano ne gidduka
Nali sikimanyi munnange
Nti obumu bwe twalina
Abantu ssi beesigwa
Mbu bwe bugagga bwe twalina
Ssente zaatugatta
Ate era ne zitwawula
Okuva olwo ssikyesiga muntu
Neesiga Mukama atakyuka

Ye mwesigwa nnyo
Alina omukwano
Buli kadde abeerawo Yesu
N’omukwano gwe tegukoma
Eŋanda zaffe
Ssaako emikwano
Bakyukakyuka
Naye Mukama takyuka
Bw’anjagala leero
N’enkya era bwatyo
Labayo talikuleka
Yadde olina ekirwadde nga kikulya
Oba bwavu buzze
Nandiki miranga
Ye Mukama abeerawo bambi
N’anyiga emitima egimenyese
Bakukyaye bonna
Olina ebiwundu
Ye Mukama abeerawo bambi
N’anyiga emitima egimenyese x2

Related Articles

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Back to top button